Luke 12

Ebirabula n’Ebigumya

1 aMu kiseera ekyo ekibiina ky’abantu bangi nnyo, ne bakuŋŋaana n’okulinnyaganako ne balinnyaganako. Awo Yesu n’akyukira abayigirizwa be, n’abalabula ng’agamba nti, “Mwekuume ekizimbulukusa bwe bannanfuusi bw’Abafalisaayo. 2 bTewali ekyakisibwa ekitalimanyibwa, newaakubadde ekyakwekebwa ekitalizuulibwa. 3Noolwekyo bye mwogeredde mu kizikiza biriwulirwa mu musana, n’ebyo bye mwogedde mu kaama, nga muli mu kisenge n’enzigi nga nzigale, bigenda kulangirirwa ku busolya bw’ennyumba.

4 c “Kaakano mikwano gyange, temubatyanga abo abatta omubiri, naye ne batabaako kirala kye bayinza kukola. 5 dNaye nzija kubalaga gwe musaanidde okutya. Mutyenga oyo alina obuyinza okutta ate n’okusuula mu ggeyeena. Weewaawo mbagamba nti oyo gwe musaanye okutyanga. 6Enkazaluggya ettaano tezigula sente bbiri zokka? Naye Katonda tazeerabira wadde emu bw’eti. 7 eEra amanyi enviiri eziri ku mutwe gwo nga bwe zenkana obungi. Temutya kubanga mmwe muli ba muwendo nnyo okusinga enkazaluggya ennyingi.

8 f “Era mbategeeza nti buli anjatula mu maaso g’abantu, n’Omwana w’Omuntu, alimwatula mu maaso ga bamalayika ba Katonda. 9 gNaye oyo anneegaanira mu maaso g’abantu, n’Omwana w’Omuntu alimwegaanira mu maaso ga bamalayika ba Katonda. 10 hNa buli muntu alyogera ekigambo ku Mwana w’Omuntu alisonyiyibwa, naye oyo alivvoola Mwoyo Mutukuvu tagenda kusonyiyibwa.

11 i “Bwe banaabatwalanga mu makuŋŋaaniro, ne mu maaso g’abafuzi ne mu b’obuyinza temweraliikiriranga kye mulyogera mu kuwoza, 12 jkubanga Mwoyo Mutukuvu agenda kubawa eky’okwogera mu kiseera ekyo kyennyini.”

13Awo omuntu omu mu kibiina n’avaayo n’agamba Yesu nti, “Omuyigiriza, gamba muganda wange angabanyize ku by’obusika bwaffe.”

14Naye Yesu n’amuddamu nti, “Owange, ani eyanfuula omulamuzi wammwe oba ow’okubamaliranga empaka zammwe?” 15 kN’abagamba nti, “Mwekuume! Temululunkananga. Kubanga obulamu bw’omuntu tebugererwa ku bugagga bw’abeera nabwo.”

16Awo n’abagerera olugero luno nti, “Waaliwo omusajja omugagga eyalina ennimiro n’abaza ebibala bingi. 17N’alowooza munda mu ye ng’agamba nti, ‘Nnaakola ntya? Kubanga sirina we nnaakuŋŋaanyiza bibala byange?’

18 “Kwe kugamba nti, ‘Ntegedde kye nnaakola, nzija kumenyawo amawanika gange gano, nzimbewo agasingako obunene! Omwo mwe nnaakuŋŋaanyiza ebibala byange byonna n’ebintu byange. 19Era nzija kugamba emmeeme yange nti, “Emmeeme, weeterekedde bingi mu mawanika go okukuyisa mu myaka mingi egijja. Wummula, olye, onywe era weesanyuse!” ’

20 l “Naye Katonda n’amugamba nti, ‘Musirusiru ggwe! Ekiro kino emmeeme yo eneekuggibwako. Kale ebyo bye weetegekedde binaaba by’ani?’

21 m “Bwe kityo bwe kiriba eri buli muntu eyeeterekera, so nga mwavu eri Katonda.”

Temweraliikiriranga

22Awo Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Noolwekyo mbagamba nti, Temweraliikiriranga bya bulamu bwammwe oba mmere gye munaalya oba engoye ez’okwambala. 23Kubanga omwoyo gusinga wala emmere n’omubiri gusinga ebyambalo. 24 nMulowooze ku namuŋŋoona, tezisiga so tezikungula, era tezirina na mawanika mwe zitereka mmere yaazo, naye Katonda aziriisa. Naye mmwe muli ba muwendo nnyo okukira ennyonyi ezo! 25Ani ku mmwe bwe yeeraliikirira, ayinza okwongerayo obulamu bwe akatundu n’akamu? 26Obanga temusobola kukola kantu katono ng’ako, kale kikugasa ki okweraliikirira ebintu ebirala?

27 o “Mutunuulire amalanga bwe gakula! Tegategana wadde okulanga ewuzi z’engoye, naye mbategeeza nti ne Sulemaani mu kitiibwa kye kyonna teyagenkana mu kwambala. 28 pKale, obanga Katonda ayambaza bw’atyo omuddo ogw’omu nsiko, ogw’ekiseera obuseera ogubaawo leero ate enkeera ne gwokebwa mu kyoto, naye ate talisingawo nnyo okwambaza mmwe ab’okukkiriza okutono! 29Temunoonyanga kye munaalya oba kye munaanywa, era temweraliikiriranga n’akatono. 30 qKubanga ebintu ebyo byonna amawanga ge biyaayaanira, naye Kitammwe amanyi nga mubyetaaga. 31 rNaye munoonye obwakabaka bwe, n’ebintu ebyo mulibyongerwako.

32 s “Temutya, mmwe ekisibo ekitono, kubanga Kitammwe asiimye okubawa obwakabaka. 33 tMutunde ebintu byammwe, ensimbi ze muggyamu muzigabire abo abeetaaga, mwetungire ensawo ezitakaddiwa era mweterekere mu ggulu mu tterekero eritaggwaamu bintu, omubbi gy’atasembera wadde ennyenje gye zitayonoonera. 34 uKubanga obugagga bwo gye buli, n’omutima gwo gye gunaabeeranga.

35 “Mube beetegefu olw’obuweereza, era mukuume ettabaaza zammwe nga zaaka. 36Mube ng’abasajja abalindirira mukama waabwe; bw’akomawo okuva mu mbaga y’obugole, n’akonkona banguwa okumuggulirawo oluggi. 37 vBalina omukisa abaddu abo, mukama waabwe baalisanga nga batunula. Ddala ddala mbagamba nti, agenda kwambala atuuze abaddu abo ku mmeeza abagabule. 38Balina omukisa abo, bw’alijja mu kisisimuka ekyokusatu, baalisanga nga batunula.

39 w “Naye mutegeere kino: singa ssemaka amanya essaawa omubbi w’anaayingirira okumenya ennyumba ye, teyandiganyizza mubbi kumuyingirira. 40 xNoolwekyo mubeere beetegefu. Kubanga Omwana w’Omuntu, ajjira mu kiseera kye mutamulowoolezaamu.”

41Awo Peetero n’amubuuza nti, “Mukama waffe, olugero luno olugeredde ffe, oba bonna?”

42 yMukama waffe n’addamu nti, “Omuweereza oyo omwesigwa era ow’amagezi ye aluwa mukama we gw’alikwasa obuvunaanyizibwa obw’okulabirira abaweereza be n’okugaba emmere mu kiseera ekituufu? 43Alina omukisa mukama we bw’alikomawo gw’alisanga ng’atuukiriza bulungi emirimu gye. 44Ddala ddala mbagamba nti mukama we alimukwasa okulabirira ebintu bye byonna. 45Naye singa omuddu oyo alowooza mu mutima gwe nti, ‘Mukama wange ajja kulwawo okudda,’ n’adda ku baweereza banne, n’abakuba, n’ebiseera bye n’abimala mu kulya ne mu kunywa ne mu kutamiira, 46 zmukama we agenda kudda mu kiseera ky’atamusuubira, amubonereze, era amusuule eyo abatakkiriza gye bali.

47 aa “Omuweereza oyo eyamanya mukama we by’ayagala akole, kyokka ye n’atabikola agenda kuweebwa ekibonerezo kinene. 48 abNaye ataamanya n’akola ebisaanidde okumukubya alikubwa kitono. Oyo aweebwa ebingi alisuubirwamu bingi, n’oyo gwe basigira ebingi, alivunaanyizibwa bingi okusingawo.

49 “Najja kuleeta muliro ku nsi, era kyandibadde kirungi singa gukoledde! 50 acNninayo okubatizibwa kwe ndibatizibwa, naye nzija kuba mu nnaku nnyingi nga tekunnaba kutuukirizibwa! 51Mulowooza nti najja kuleeta mirembe ku nsi? Mbategeeza nti sajja kuleeta mirembe wabula okwawukana. 52Okuva kaakano amaka gajjanga kwawukanamu, ag’abantu abataano, abasatu ku bo nga bawakanya ababiri, n’ababiri nga bawakanya abasatu. 53 adKitaawe w’omwana alyawukana ne mutabani we, n’omwana n’ayawukana ne kitaawe, ne nnyina w’omwana alyawukana ne muwala we n’omuwala n’ayawukana ne nnyina, ne nnyazaala balyawukana ne muka mwana we ne muka mwana n’ayawukana ne nnyazaala we.”

Okunnyonnyola Ebiriwo

54 aeAwo Yesu n’akyukira ekibiina n’abagamba nti, “Bwe mulaba ebire nga byekuluumulula ebugwanjuba, amangwago mugamba nti, ‘Enkuba egenda kutonnya,’ era n’etonnya. 55Ate empewo bw’ekunta ng’eva ku bukiikaddyo, mugamba nti, ‘Leero akasana kajja kwaka nnyo,’ era bwe kiba. 56 afBannanfuusi mmwe! Musobola bulungi okunnyonnyola obubonero obuli ku nsi ne mu bbanga, muyinza mutya obutamanya obubonero obw’omu kiseera kino?

57 “Lwaki temwesalirawo ekyo kye mulaba nga kituufu? 58 agBw’obanga ogenda n’akuwawaabira mu mbuga z’amateeka, gezaako okumusaba ensonga zammwe muzimalire mu kkubo nga tezinnatuuka wa mulamuzi, talwa kukutwala wa mulamuzi, n’omulamuzi n’akuwaayo eri omuserikale, n’omuserikale n’akusibira mu kkomera. 59 ahKubanga nkutegeeza nti togenda kuvaayo okutuusa nga ne sente esembayo omaze okugisasula.”

Copyright information for LugEEEE